Owa NUP eyabuzibwawo e Masaka yeeraliikirizza famire ye
Wabaluseewo obweraliikirivu mu b’enganda z’omusajja ayitibwa Ibra Kimera omutuuze w’e Kyabakuza e Masaka, amaze kati ennaku nnya nga talabikako oluvannyuma lw’okuwambibwa abantu abateeberezebwa okuba ab’ebyokwerinda. Kimera ono amanyiddwa nnyo nga Migunamiguna era nga muwagizi wa kibiina ki NUP. Poliisi etubuulidde nti terina kyemanyi ku mayitime ga musajja ono.