SARAH NAMULONDO: Embeera mw’asula ya bunkenke
Wuuno omukazi wa myaka 30 era wa baana 4 amaze emyaka 2 nga asula mu ka kalina akakolerere n’abaana be lwa mbeera. Ye n’abaana be balina kulinnya madaala amakolerere mu miti okutuuka mu kazigo waggulu gye basula. Waasula wano muzirakisa ye yakookera ka kalina kano ku buzigo obuli wansi waako asobole okufuna w’asula oluvannyuma lwa bba okumulekawo nga azadde omwana alina obulwadde bw’amazzi g’omu mutwe.