Ssaababalirizi aleese omuwendo ‘omutuufu’ okuliyirira UMEME
Palamenti ekkiriza gavumenti okusasula ekitongole ki UMEME obukadde bwa dolla 118,nga kino kiddiridde ssaababalirizi w’e bitabo bya gavumenti okukola okwekeneenya okumala n’akakasa nga bano bagwana kusasula mutemwa guno.Alipoota eno Ssaababalirizi w’e bitabo bya gavumenti asoose kukwasa alipoota eno Sipiika wa palamenti Anita Among,nga alambika omuwendo gweyazudde.Kyokka omuwendo guno gwawukana n’endala za mirundi ebiri okuli obukadde 127 sako n’ebbanja gavumenti lyeyafuna ery’okusasula Umeme ery’obukadde 190 ez’Amerika.