Ssente z’engasi ku nguudo, aba ‘takisi’ bagamba ziyitiridde
Abakulira ekibiina kitaba abavuzi ba Takisi mu ggwanga ki Uganda Taxi Operators Federation oba UTOF bateekateeka okuwandiikira palamenti nga bemulugunya ku bisale ebyateredwawo minisitule y'ebyentambula ku buli mugoba wa kidukka amenya amateeka g'okunguudo.Bano bagamba nti ensimbi ezateereddwawo ku buli mugoba wa kiduuka asangibwa nga avuga endiima si za buntu , kale nga baagala palamenti etunule mu nsonga eno, kubanga bbo nga abasinga okukozesa enguudo zino tebasoose kwebuzibwako.