UMEME esiibudde,gavumenti erangidde ekiddako
Ng'ebula essaawa mbale yeddize omulimu gw'okutunda n'okubunyisa amasannyalaze mu ggwanga, gavumenti erangiridde nga bwekendezza ku bisale byamasannyalaze ebitundu 14 ku kikumi mu myezi esatu egijja. Okulangirira kuno kukoleddwa ku mukolo UMEME weweereddeyo obuvunaanyizibwa bwayo eri ekitongole kya gavumenti ki Uganda Electricity Distribution Company Limited. Abaddukanya ekitongole kino ki UEDCL basuubizza okutuusa empeereza.