Wuuno John Kakama eyakola ebya UCE nga talina mikono
Mu mwezi ogw’ekkumi omwaka oguwedde twakulaga emboozi y’omuvubuka john Kakama eyatuula ebibuuzo bya S.4 ku ssomero lya Kigezi High School, kyokka nga talina mikono. Omwana ono okuwandiika akozesa bigere,era nga n’ebibuuzo bino ya biwandiika atyo. Eky’essanyu ebyavudde bino byagenze okudda nga akoze bulungi, era kati aluubirira kusoma mateeka .