Zungulu: Abasuuta Kristu bajaguza Pasiika
Nga abasuuta Kristu bajaguza Pasiika week ewedde, n'abasamize baasalawo babeegatteko nti kubanga nabo olunaku lubakwatirako ddala. Ku mulundi guno bagaanye eby'okubayita abataasoma, era kkwaya yaabwe yayiyiizzaayo oluyimba lw'ekisamize nga luli mu luzungu. Ogenda kulaba n'omulonzi w'obucupa eyakubye omutamiivu embaga makeke eyasombodde nnasiisi w'omuntu. Bino byonna mu ZUNGULU.