ZUNGULU: Omubaka Ssekikubo, asabye ba general e Sembabule ebya Cheppe babizze ku bbali
Ng'akaseera ka bannabyabufuzi okwegera eryanyi kasemberera, Omubaka Theodore Ssekikubo, asabye ba general mu district y'e Sembabule, ebya Cheppe babizze ku bbali bajje bamwangange mu kalulu. Ate bbo abasajja baakwongera okwagala ssaabalabirizi Kaziimba Mugalu oba oli awo bamugulireyo n'ogulabo ogunene bagumutwalire,oluvannyuma lw'okusaba abakyala bakole ebiraamo nga balaga b'ani abagenda okubaddira mu bigere mu malya gaawe