Zungululu: Abamu ku baayingidde omwaka guno sibasanyufu ne Katonda
Omwaka oguwedde newankubadde eriyo abagamba nti tegubadde mwangu, 2024 ate ye yandikaluba nayitawo kubanga wetwogerera ye January waliwo ebyamufundikidde edda. Abamu ku baayingidde omwaka guno nabo sibasanyufu ne Katonda olw'okubanga awadde abalala Motoka empya bbo n'abammayo yadde n'akagaali. Ogenda kulaba n'abesuubizza obuteeyongerako yadde mu mwaka guno omupya.