E Wakiso batandise ku nteekateeka z’okuzimba obutale obw’omulembe
Aba disitulikiti ya Wakiso batandise ku nteekateeka z’okuzimba obutale obw’omulembe busatu.
Kuno kuliko aka Wakiso Central daily Market, Bulaga Daily market ne Kawuku Daile Market.
Olwaleero bano basisinkanye abasuubuzi okufuna ebirowoozo byabwe ku butale obupya obugenda okuzimbibwa.