Ekidinidiini e Ngogwe: Abatuuze bookezza ekkanisa mwebabadde basabira
Abatuuze ku kyalo Kiwale ekisangibwa mu gombolola y’e Ngogwe e Buyikwe bavudde mu mbeera nebakakkana ku kanisa y’abalokole nebagyiteekera omuliro nga kwotadde n’okunoonya abantu abagambibwa okukkiririza mu kidiinidiini kya 666.
Bano okuva mu mbeera, kidiridde ab’enzikiriza eno okugaana okugemesa abaana ekiviirideko abamu okufa ebirwadde ebitategerekeka.
Poliisi egamba abamu ku b’enzikiriza eno bakwatiddwa.