OKUSUNSULA ABA S 5: Abataakoze bulungi bagaaniddwa okuweebwa ebifo
Minisitule y’ey’enjigiriza ekalaatidde bannanyini masomero okwewala okuyingiza abayizi abataafuna bubonero bubasobozesa kwegatta ku mutendera oguddako oba ogwa A Level.
Bagamba buli somero lirina okugoberera obubonero obw’essalira obukkiriza omuyizi okugenda ku mutendera omulala.
Bino byogeddwa ateekateekera minisitule y’eby'enjigiriza, Dr. Kedrice Turyagyenda bw’abadde aggulawo okusunsula kw’abayizi abagenda okwegatta ku S.5.