Ab'e Bukwiri - Kyankwanzi bajjanjabiddwa amaaso
Abantu abali eyo mu 1,200 bebazuuliddwa z’amaaso ezenjawulo mu lusiisira lw’eby’obulamu olubadde ku ssomero li Butemba College Secondary School mu town Kanso y’e Bukwiri mu disitulikiti y’e Kyankwanzi. Bbo ababadde betaaga galubindi nazo bazibagulidde zibaweereddwa. Omubaka omukyala ow’ekitundu kino Christine Bukenya Ssendawula asabye abazuuliddwa nti balina okulongosebwa okukikola mu bwangu okwewala akabi akayinza okudirira.