Enkola y'ekizaala ggumba mu basajja
Abasajja bakubiriziddwa okwettanira enkola y’ekizaala gumba kibayambe okuteekerateekera abaana baabwe. Kigambibwa nti enkola z’okuteekateekera amaka, abasajja bangi balowooza nti zikwata ku bakyala bokka ne bakomekkereza nga bazadde abaana bebateetegekedde. Kati bano babakubirizza okwettanira enkola y’okusala obuseke/Vasectomy mu kiseera nga bawezezza abaana be beetaaga. Bino bituukiddwako mu lukung’aana lw’okujaguza olunaku lw’abasajja abakozesa enkola eno.