Abatuuze b'e Jeza - Muduuma bavudde mu mbeera olw'ekubbo
Abatuuze b’e Jeza mu gombolola y’e Muduuma e Mpigi bakedde kuva mu mbeera oluvanyuma lw’ekkubo lyabwe okuzibibwa lyonna nga liyiiriddwamu entuumu z’ettaka. Bagamba bagenze okugula ku kitundu kino nga ekkubo lino lyabakozesa kyoka kyabeewunyisizza ate okusanga nga ekkubo lyabwe lizibiddwa. Kati bagamba okufa n’obutanyagwa sibakukkiriza kujoogebwa - Ssentebe w’eggombolola y’e Muduuma Musa Kakembo agamba obuzibu buva kuba ssentebe ku kyalo kino ekya Jeza A okuguza abantu okutunda poloti nga bakimanyi bulungi nga tewali kkubo, wabula agamba baakukwatagana n’abantu abalala abaliraanyewo okulaba nga bafunira abantu ekkubo.