Akulira poliisi e Mateete akubiriza abazadde okukuuma abaana baabwe mu luwummula
Akulira poliisi n’omuntu wa bulijjo e Mateete mu Ssembabule akubiriza abazadde okukuuma obulungi abaana baabwe mu luwummula luno oluwanvu. Ono era abasabye okwegendereza amasimu galeme kufuuka kizibu eri abaana baabwe kwebakoppa emizze emikyamu. Okwogera bino babadde ku somero lya Freedom Junior school erisangibwa ku kyalo Kasaana mu gombolola y’e Mateetee mu disitulikiti y’e Ssembabule bweribadde lijjaguza okuweza emyaka 14 bukyanga litandikibwawo. Nanyini ssomero lino abuulidde nga obutasoma bwebwamutandisaawo essomero lino oluvanyuma lw’okusubwa emirimu egy’ebbeeyi.