Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo, yeekokodde obuwangwa obumu
Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo, yeekokodde obuwangwa obumu obuvuddeko ensibuko y’obutabanguko mu maka. Ono alumiriza obuwangwa buno okuwa abaami ebbeetu n’okubalaga nti baawaggulu nnyo ku bakyala ekibaviirako okwoleka esajja lyabwe. Kati ayagala gav’t eyongere amaanyi mu kufeebwa obuwangwa buno obulengezza abakyala ku basajja.