Abakyala abasoba mu 60 bakwatiddwa e Hoima olw’okulemererwa okusasula ssente ezali zabaweebwa
Abakyala abasoba mu 60 bakwatiddwa mu disitulikiti ye Hoima oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula ssente ezali zabaweebwa mu ntekatekateeka yokukulakulanya abavubuka eya Uganda Women Entrepreneurship Program. Abadukanya enteekateeka eno bategezeza nti abakazi bano bamazze ebbanga nga bawa ensongansonga okutuusa lwe babakwasiza omukono ogw’ekyuuma. Obukadde obuli eko mu 700 bwebwaali bwaweebwa ebibiina bya bakayala bano, kyoka ntono ezakakomezebwawo.