Abavubuka abalwanirizi b’obutonde bwe nsi batiisizatiisiza okudukira mu mbuga z’amateeka
Abavubuka bannakyewa ab’eyita abalwanirizi b’obutonde bw'ensi batiisizatiisiza okuddukira mu mbuga z’amateeka okusaba omusango gw’okweyisa ng’ekitagasa okujibwawo. Bagamba ab’eby’okwerinda bagukozesa okulinyirira eddembe lyabo abavaayo okulaga obutali bumativu bwabwe mu ddembe. Kino kiddiride bannaabwe abawerako abazenga beekalakaasa nga bawakanya omudumu gw’amafuta oguzimbibwa nga bwebakwatibwa baggulwako gwa kweyisa nga ekitagasa.