E Mityana abayizi basimattusse omuliro ogusanyizawo ekisulo ky'abaana
Abayizi b’essomero lya Wilton Primary School erisangibwa mu kibuga Mityana abasimattuse okujjiira mu muliro ogukutte ekisulu ky’abaana abalenzi.
Ekirundi omuliro guno wegukwatiddwa abayizi babadde bagenze kusoma bitabo ku saawa nga 12 ez’okumakya.
Ebintu byona bisanyewo - abasomesa n’abatuuze beebuza omuliro kweguvudde ku ekisulu kino tekikozesa masanyalaze okujjako agamaanyi g’enjuba.