E Mubende, omwana asaliddwako omutwe
Abatuuze ku kyalo Nkandwa - Kabiriizi mu gombolola y’e Kibalinga e Mubende bagudemu ekyekango oluvanyuma lw’okugwa kumulambo gw’omwana omuto owa mutuuze munaabwe nga asalidwa obulago. Omwana abadde wa myaka enna nga muyizi kusomero lya Bethel Infant Primary School - maama we yabade amulese waka n’agenda okulima.