Ekikwekweto ku bukyafu e Ssentema: Ennyumba ezisukka mu makumi 20 ziggaddwa
Abavunaanyizibwa ku by'obulamu e Wakiso bakoze ekikwekweto e Kakooge e Ssentema mwebaggalidde ennyumba ezisukka mu 20 olw’obukyafu nga endala teziriba kaabuyonjo.Balaze obw'ennyamivu olw'abantu ab’esuuliddeyo ogwanangamba mukulongoosa ebitundu byabwe ekyongede endwadde eziva ku bukyafu.