Ekitongole ki KCCA kikoze ekikwekweto n’mwekikwatidde abaana b’okunguudo abasobye mu 160
Ekitongole ekidukanya e Kibuga Kampala ki KCCA nga kiyambibwako poliisi kikoze ekikwekweto n’mwekikwatidde abaana b’okunguudo abasobye mu 160. Okukwatibwa kubadde kulwanagana kwenyini era abalala emisinde gyibeeyimiridde - bano bakungaanyiziddwa ku divison y’e Nakawa nga webagenda okugyibwa batalibwe mu disitulikiti y’e Napak gyebakuumibwa n’okubudaabudibwa