Ekitongole kya Aga Khan kizimbye esomero lya University
Wakati mukusembeza obuweereza mu bantu bawansi ekitongole kya Aga Khan kizimbye esomero lya University kwosa eddwaliro mu gombolola y’e Nakawa nga kino kyandiyambako ku batuuze okufuna obuwereza obwamangu. Esomero eritumiddwa the Aga Khan University litekeddwako ebibiina eby’omulembe nga okusinga lyakusomesa abasawo kwosa abasomesa nga lyakuyamba buli mwana kababeere bamufuna mpola. Bino byogeddwa abakulu okuva mu Aga Khan university bwebabadde balambula ebizimbe bino ebiyoyooteddwa obulungi nga n’ebimu bikyazimbibwa, nga bisuubirwa okugulwawo omwaka guno.