Emisango mu mwaka gwa 2024 Ekendedde ebitundu 4.1% bwogerageranya ne 2023
Poliisi etegeezezza nga obuzzi bw’emisango mu mwaka gwa 2024 bwebukendedde ebitundu 4.1% bwogerageranya n’omwaka gwa 2023. Ssenkaggale wa poliisi Abasi Byakagaba, asiimye abantu ba bulijjo okunyiikira okuloopa emisango ku poliisi ekiyambye abakuuma ddembe okumanya wa aw’okussa essira.