Enkayana ku ttaka: ennyumba ya nnamwandu eyokeddwa
Waliwo Namwandu e Zirobwe mu disitulikiti y’e Luweero asula akukunadde nga lumonde mu kikata olwa balamu be abaagala okumugobaganya ku kibanja. Ono agamba batuuze n’okumwokera ebintu mu nyumba ye – ono gwetusanze e Janda agamba bba ekibanja kwebamugobaganya bba yeyakimulekera. Poliisi egamba etandise okuyiga abali emabega w’okuteekera enyumba ya namwandu omuliro.