Enteekateeka ya PDM: Abagyiganyiddwamu balamuddwa e Mityana
Mukaweefube wa gavumenti okulwanyisa obwavu, yateekawo enkola ya Parish Development Model okulaba nga ewa abantu ensimbi z’okwekulaakulanya. Kati abavunaanyizibwa ku nsimbi zino mu munisipaali y’e Mityana balambudde abantu abaganyuddwa mu nteekateeka eno mu muluka gwe Nakaseeta. Abaweebwa ensimbi zino baliko okusoomozebwa kwebanokoddeyo kwebasanze mu nteekateeka eno, omuli n’okuba nti baafuna ntono nyo.