Gav't egamba ebitundu 60 ku kikumi bibaliddwa
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ki Uganda Beaural of Statistics [UBOS] kitegeezezza nga bwekitagenda kwongezaayo yadde olunaku mu ddimu ly’okubala abantu singa ennaku 10 ezaalangirirwa ziggwako. Okusinziira ku UBOS, ekitundu ky’abantu ekisinga obunene kimaze okubalibwa nga webwazibidde olunaku lw’eggulo ng’ebitundu ebisoba mu 60% biwedde okubalibwa kale ng’ennaku ezibulayo zimalira ddala ebitundu 40% ebisigaddeyo okubalibwa. Kyokka bano basabye bannayuganda bonna okwettanira okubalibwa, ekigendererwa kisobole okuvaayo obulungi.