Okulamaga: abaasimbudde e Nebbi basuze Mwoya
Abalamazi abavudde mu saza ly’e Nebbi olwaleero bayingidde olunaku olw’okubiri nga batambula okwolekera Namugongo okwetaba ku bijjaguzo by'okukuza olunaku lw'abajulizi. Bano olwaleero batambulidde ku mmotoka okusomoka ekuumiro ly'ebisolo li Murchison National Park basule E Nwoya ate enkya basale omugga Karuma okwolekera e Kiryandongo. Baasazewo nti buli lunaku baakutambula Kilometa ezitasukka 25.