Okwekalakasa: Abavubuka abamu neera bakwatiddwa, abalala basindikiddwa ku alimanda
Poliisi eriko abavubuka beekutte, nga bano babadde bateekateeka kwogerako eri bannamawulire ku mbeera eriwo ey’abantu okulemesebwa okwekalakaasa nga bawakanya obuli bw’enguzi. Ate abalala abakwatiddwa olunaku lw’eggulo basimbiddwa mu mbuga z’amateeka, nabo basindikiddwa Luzira. Zo enguudo ezetoolodde palamenti y’eggwanga ab’eby’okwerinda tebannaseguka era abantu tebakkirizibwa kuzikozesa. Mu bitundu bya Kampala, embeera esiibye nzikakkamu wadde nga ab’eby’okwerinda mubaddemu ba musoolesoole.