Omukazi e Kamuli yesazeeko bba obusajja
Poliisi e Kamuli eriko omukazi gw’ekutte olw’okusalako bba obusajja oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya. Kevin Nabirye atemera mu gy’obukulu 37 yeeyasazeko bba Mathias Bwamiki obusajja oluvanyuma lw’omusaba omukwano n’atandika okwebuzaabuza. Omukazi abadde ateebereza bba okubeeramu ebikolwa byokubaliga. Bwanika ali mu ddwaliro e Kamuli afuna bujjanjabi.