Poliisi e Kiryandongo eri mu kuyigga musawo eyakuba omwana edddaga ekyamu eryamuviirako okufa
Poliisi e Kiryandongo eri kumuyigo gw’omusawo Ephraim Kaggwa agambibwa okukuba omwana edddaga ekyamu eryamuviirako okufa. Melan Kagoya ow’emyaka 6 yatwalibwa mu ka lwaliro nga mulwadde omusujja kyoka olwakubwa empiso n’afiirawo. Kati bazadde b’omwana ono bakwata nannyini ddwaliro lino oluvanyuma n’ateebwa ku kakalu kaayo agyiyambeko mukunoonyereza omusawo agambibwa okukola kino.