Poliisi e Nansana ekutte abavubuka 6 ababadde bagufudde omugano okutigomya abantu mu kitundu kino
Poliisi e Nansana eriko abavubuka 6 beekutte nga bano kigambibwa babadde bagufudde mugano okutigomya abantu mukitundu kino. Abakwatiddwa basangiddwa ne pikipiki bbiri ezigambibwa okuba nga zeyambisibwa mu kubba abantu. Bano bakkiriza nti babba, naye okusinga bbo babba masimu na ssente.