Abalwanyisa akawuka akaleeta siriimu basabye gav’t okwongera okutumbuula eby’ensoma y’abawala
Abakugu mukulwanyisa akawuka akaleeta siriimu basabye gav’t okwongera okutumbuula eby’ensoma y’abaana ab’obuwala nga kwotadde n’okwongera ku nsimbi eziteekebwa mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya.Okusinziira ku bibalo, mu nsi yonna abantu abawerera ddala obukadde 31 bebawangaala n’akawuka ka siriimu, nga kubano kuliko bannayuganda akakade kamu mu emitwalo 49.Akakiiko ka Uganda Aids Commission kategeezezza ng’okusasaana kw’akawuka kukendedde bwogeraageranya ne mwaka eguyise.