Poliisi enzinyamwoto, ekubirizza bannayuganda okuba obulindaala mu kiseera ky’ennaku enkulu
Poliisi enzinyamwoto, ekubirizza bannayuganda, okuba obulindaala mu kiseera ky’ennaku enkulu okwewala ebibambulira nga omuliro. Okusinziira ku Joseph Mugisa akulira poliisi eno, abantu bangi basalawo okweyuna amasanyu, olwo nebalagajjalira amaka gaabwe. Poliisi egamba neetegefu okukola ogwayo singa wabaawo ekibamba kyona ekigwawo