Poliisi eri mukunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku musuubuzi e Jinja
Poliisi e Jinja etandise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku Swaibu Katongole ekiro ekyakeesezza. Omugenzi abadde musuubuzi omukukunavu era nga kiteeberezebwa nti abaamusse, baabadde basoose kwekobaana. Omulambo gwono gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi ku kyalo Lubogo mu Jinja.