Poliisi etandise okunoonyereza ku masasi agaavuze ku luguddo oludda e Buddo
Poliisi etandise okunoonyereza ku masasi agaavuze akawungeezi k’eggulo ku luguddo oludda e Buddo mu tawuni kanso ye Kyengera omwafiiridde abantu babiri. Abagenzi kuabaddeko Evelyn Nalumansi Zaria Kironde, omutuuze w'e Maggwa-Buddo eyabadde azze okugula ebikozesebwa ewaka mu katale n'omuntu omulala eyabadde mu byambalo ebyafaananyiriza ebya UPDF. Kati Henry Opoka eyakwatiiddwa okuyambako mu kunoonyereza kigambibwa yeyakubye ebyasi bino wabula nti yabadde agezaako kwetaasa ku bantu abaabadde bamuwambye.