RDC w'e Wakiso ayimirizza okuzimba okubadde kukolebwa ku ssomero lya Baalibaseka SS
RDC w'e Wakiso Justine Mbabazi ayimirizza okuzimba okubadde kukolebwa ku ssomero lya Baalibaseka Secondary School e Wakiso oluvanyuuma lw'okubizuulamu ebirumira. Kino kiddiridde ono okuyitibwa okutema evvunike ly'okuzimba ebibiina n'ennyumba z'abasomesa kyokka agenze okutuukayo nga bamulaga kaabuyonjo nga ate ebirina okuzimbibwa birala. Enginiya bwabuuziddwa okunyonyola ekigenda mu maaso n’alemererwa kwekulagira ebibadde bikolebwa bisooke biyimirire.