Temuvumiriza linnya lya Buganda: Mpuuga akukkulumidde bakulembeze banne
Omubaka wa palamenti owa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga alaze obw’ennyamivu olw’engeri abakulembeze mu kitundu kya Buganda gye bettanidde okutattana amanya ga banaabwe nga ne kitibwa kya Buganda tebakitalizza Okwogera bino abaddde akulembeddemu ekibinja kya bannamasaka abakedde okugenyiwalako e Bulange Mengo okugula emijoozi gy’emisinde gya Kabaka egya Kabaka Birthday Run.