Ekibiina ki NUP kyagala akiiko k’ebyokulonda kawe obweyamo nti ssikakufuuka kyesirikidde ng’abebyokwerinda batuntuza bannabyabufuzi abamu naddala abali ku ludda oluvuganya mu biseera by’akalulu ka 2026.Okwogera bino abakulembeze ba NUP nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina, David Lewis Rubongoya babadde balabiseeko eri akakiiko k’ebyokulonda okujjayo empapula, Pulezidenti w’ekibiina, Robert Kyagulanyi Ssentamu kw’anaavuganyiza ku ky’omukulembeze w’eggwanga mu kalulu ka 2026.Aba DP, nabo bagyeyo empapula, ne basekerera abalowooza nti Nobert Mao tasobola kuvuganya Museveni, eyamuwa obwa Minisita.
ABAAGALA OBWA PULEZIDENTI :Aba NUP ne DP baggyeyo empapula z’abantu baabwe

Leave a Comment