Abazannyi bamusaayi muto abawerera dala 70 beebaakatuuka mu nkambi y’omupiira eya Twinbrook Soccer Academy ekubiddwa ku Twinbrook Schools e Kiteezi okwongera okubangulwa mu muzannyo guno.Abaana bano baakufuna omukisa okufuna obukodyo mu muzannyo guno okuva mu bazannyi b’eggwanga mu mupiira gw’abasajja n’abakazi okuli Zaina Nandede Captain wa Crested Cranes, eyaliko Kapiteeni wa Uganda Cranes, Denis Masinde Onyango ne Allan Okello.