Akakiiko k’ebyokulonda leero katandise okuwulira okwemulugunya kwabaali beegwanyiza okuvuganya ku bukulembeze bwa gavumenti ezebitundu kyoka olwensonga ezenjawulo ne balemesebwa okusunsulwa.Ssentebe w’akakiiko kano Simon Byabakama atugambye nti bakafuna abantu 60, kwabo abasunsulibwa wakati wa 3- 5th omwezi guno, abakakasa nti teyali nsobi yaabwe obutasunsulwa.Byabakama agambye nti kino bagenda kukikola mu bwangu, era buli eyemulugunya aweebwe okwanukulwa mu buwandiike.