Wetwogerera nga olubiri lwa Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Gabula olw’e Igenge mu Jinja luwedde okuyoyootwa, nga Busoga yeetegekera amatikkira ga Kyabazinga og’omulundi ogwe kumi n’ogumu bukyanga atandika kulamula Busoga. Abakulu mu bwa Kyabazinga batugambye nti mu bbanga Kyabazinga ly’amaze mu Ntebe eno abbuludde eby’enjigiriza, eby’obulamu, kko n’okuzaawo obumu, kale nga balina ensonga okujaguza.