Akulira Daawa mu wofiisi ya Supreme Mufti e Kibuli Sheikh Abaasi Kiweewa awakanyizza eky’akakiiko k’eby’okulonda okukugira bannabyabufuzi okwetaba ku mikolo egyokusonda egyibeera mu masinzo nga bekwasa nti kino kiyinza okulabika nga okugulirira abalonzi. Sheikh Abaasi agambye nti eby’obufuzi bisobola okutambula nga n’emirimu gy’eddiini bwegigenda maaso kubanga mukaseera nga kano bannabyabufuzi nabo we babakwasiza okubaako kebasuula eri emirimu gya mukama. Bibadde ku mukolo ogw’okutongoza okusoma empaka za Quran mu Kawempe.