Aba famire ya Amos Rwangomani basabye ab’eby’okwerinda bamuyimbule 


Olive Nabiryo
0 Min Read

Ab’oluganda lw’omusajja Amos Rwangomani Turinawe eyabuzibwawo gyebuvuddeko nakati bakyasobeddwa olw’okubulwako amawulire gonna agakwata ku mayitire ge.

 Gyebuvuddeko bannansi ba Kenya Bob Jangi ne Nicholas Ayoo abaali baawambiddwa mu Uganda, baategeeza bannamawulire nti gyebaali bakuumirwa baalaba ku musajja ono, era n’abatuma okujja babuulire eggwanga. 

Kati Mukyalawe Claire Ateekateeka atugambye nti newankubadde baafunye okubagulizibwako kuno, mpaawo kitongole kyavuddeyo kwegaana oba okutangaaza ku mayitire g’omusajja ono.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *