Aba NRM bakunze ab’e Nakaseke okubawagira mu kalulu ka 2026

Olive Nabiryo
1 Min Read

Banna NRM balumye n’ogwengulu era bawera nkolokooto nti kagwaake k’ettonnye bakweddiza ebifo by’onna eby’ababaka ba Parliement mu Buganda ebyabakwakulwako ekibiina kya NUP mu kulonda okuwedde.Ku bifo 105 eby’ababaka ba Parliament mu Buganda NRM yawangulako 31 byokka ebirala nebiwangulwa ’oludda oluvuganya naddala NUP. Kati mu nteekateeka y’okuzza obuwagizi bwa NRM mu Buganda eyatuumibwa Buganda ku Museveni, leero Ssabawolereza wa Government Kiryowa Kiwanuka n’ekibinja kye basiibye Kiwoko mu Nakaseke nga bamatiza abantu okubalonda mu kalulu akajja. Ensonga y’ekibba ttaka ebadde mu mwanjo nnyo mu bisomozo ebinokoddwayo.

TAGGED:
Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *