Abantu 63 be beesowoddewo mu bbendobendo lya Luweero

Gladys Namyalo
1 Min Read

Abantu 63 bebesowoddeyo okuvuganya ku bifo 11 eby’ababaka ba Parliament mu district essatu ezikola ebendobendo lya Luwero, okuli Luwero Nakaseke ne Nakasongola ekitundu ekyaleeta government eno mu buyinza. Luwero erina ebifo by’ababaka ba Parliament bina ng’eno abantu 31 bebasunsuddwa okuvuganya ku bifo bino, Nakaseke nayo erina ebifo bina eby’ababaka ba Parliament ng’eno abantu 15 bebasunsuddwa okubivuganyaako ate Nakasongola erina bisatu ng’eno abantu 19 bebasunsudwa okubivuganyaako. Munnazungulu Ivan Kyeyune ayisizza ebivvulu ng’alaga obuwagizi bwe oluvanyuma lw’okusunsulwa. Omusassi waffe Herbert Kamoga asiibye atabaala bitundu bino era bino by’atukunganyirizza.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *