Olwaleero akakiiko k’ekibiina kya NUP akavunanyizibwa ku by’okulonda lw’ekasunsudde abegwanyiza ebifo eby’enjawulo mu government ez’ebitundu okuva ku kya kansala wa district okukka wansi. Okusunsula okw’olwaleero kubadde kw’abo abava mu bendobendo lya Luwero mu district okuli Luwero, Nakaseke ne Nakasongola, era kukulemeddwamu akulira akakiiko kano Harriet Kyamutai. Ono alabudde abo bonna naddala abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ababadde balimba banaabwe nti bebavunanyizibwa ku ky’okusunsula.