Akakiiko K’ebyokulonda kagamba tekavunanyizibwa ku bungi oba endabaka y’abo abeegwanyiza eky’okumukulembeze w’eggwanga, era nga keetegefu okuwa empapula abo bonna abeegwanyiza ekifo kino kasita baba nga bannaUganda ate nga bawaandisibwa akakiiko ng’abalonzi. Olwaleero luyingidde olunaku olw’okubiri ng’akakiiko kagaba empapula eri abo abeegwanyiza okuvuganya ku kya Pulezidenti w’eggwanga, era webuzibidde ng’omuwendo gw’abeegwanyiza ekifo kino guli ku bantu kinaana mu munaana.