Waliwo omusajja eyakulira mu ghetto za Kampala alina ekirooto ky’okukyusa obulamu n’embeera z’abantu abawangaalira mu Ghetto ngabuulira enjiri.Jevin Matovu ngamanyiddwa nnyo nga Napoleon akozesa obukodyo obwenjawulo mu kubuulira ekigambo kya mukama eri abantu bano omuli n’okubagabira emmere .Omusasi waffe Shafik Arafat yagwikirizza Matovu ngabuulira enjiri mu kisenyi wano mu Kampala .